Job 31:24-28


24 a“Obanga nateeka obweyamo bwange mu zaabu
oba ne ŋŋamba zaabu ennongoose nti, ‘Ggwe bwesige bwange;’
25 bobanga neeyagala olw’okuba n’obugagga obungi,
oba olw’okuba emikono gyange gy’ali ginfunyisizza bingi;
26 cobanga nnali ntunuulidde enjuba,
oba omwezi nga byaka mu kitiibwa,
27omutima gwange ne gusendebwasendebwa mu kyama,
ne mbinywegera nga mbisaamu ekitiibwa,
28 dera n’ekyo kyandibadde kibi ekiŋŋwanyiza okusalirwa omusango
olw’obutaba mwesigwa eri Katonda ali waggulu.”
Copyright information for LugEEEE